30 – Yesu Ggwe Eyanjagala

S.D.A Hymnal 401

30. Yesu Ggwe Eyanjagala… ~ Jesus Lover of My Soul…

1 of 4 verses

Yesu, Ggwe yanjagala
ka nzirukire gy’oli;
Amayengo g’ennaku nga
gankubira ddala
Nkweka mu mikono gyo,
Abannumba bamaanyi,
Sirina magezi nze,
Kkiriz(a) omwoyo gwange.

2 of 4 verses

Tewali kiddukiro
Wabula mu mwoyo gwo;
Tondekanga!
Ntetera Natera kugwa bugwi.
Essanyu lyange lyonna
ndiggya mu kubeerwa kwo,
Nsensez(e) omutwe gwange
Wansi w’emikono gyo.

3 of 4 verses

Ggwe wekka gwe netaaga,
Tewali akwenkana;
Agudd(e) onnyimuse,
Vumula azirise.
Omulwadd(e) omuwonye,
Zibul(a) eyazibiddwa,
Nze njijudde ekibi.
Gw’oli butuukirivu.

4 of 4 verses

Yaza gyendi ekisa kyo,
Sangul(a) ebibi byange
Nin(a) ennyont(a), ondeetere
(A)mazzi agampony(a) ennyo
Gw’oli nsulo y’obulamu.
Kansene omwo mwokka
(O)mwoyo gwange gujjule
Amazzi (a)g’obulamu.

 

Exit mobile version