N.A. Hymnal 325
27. Ayi Mukama Otuwulire… ~ Saviour Again To Thy Dear Name…
1 of 4verses
Ayi Mukama Otuwuwulire
Nga tukyali wano tukwebaza;
Nga tukyali mu kusinza kuno,
Tulindire, otusiibule.
2 of 4 verses
Tuwe emirembe nga tuddayo,
Tube mu ggwe okutuusa (e)kiro;
Tuwonye mu kukemebwa kwonna,
Nga bwe tukowoodde erinnya lyo.
3 of 4 verses
Tuw(e) essanyu mu
bulamu bwaffe,
Era (o)tuyambe mu nnaku zonna;
(E)Misana n’ekiro tube babo
Tuwumulire mu bukuumi bwo
4 of 4verses
Ku nsi kuno otuw(e) emirembe
Beer(a) essanyu lyaffe mu bizibu;
Bw’olituyita ku nkomerero,
(O)Tutwale gy’oli, mu mirembe gyo