25 – Atikkirwe Engule

S.D.A Hymnal 162

25. Atikkirwe Engule… ~ Crown Him With Many Crowns…

1 of 4 verses

Atikkirwe (e)ngule,
Omwana gw’endiga;
Muwulire amatendo- ge
Agatenkanika
Fuba mwoyo gwange,
N’amanyi gonna;
Oyatule Kabaka wo,
Eyakufiirira.

2 of 4 verses

Atikkirw(e) engule,
Eyakomererwa;
Enkovu z’emisumaa-li,
Zonna zirabika
Teri malayika Agumiikiriza
Okulaba enkovu ze
Ez’emisumaali

3 of 4 verses

Atikkirw(e) engule,
Kabak(a) ow’eddembe!
Entalo zikome ku-nsi,
Tumutendereze
Alyoke afuge,
Emirembe gyonna,
Ebimuli bitimbibwe
Mu nsi yaffe empya!

4 of 4 verses

Atikkirw(e )engule,
Emirembe gyonna;
Eya-tonda obwengu-la,
Oyo atalemwa
Asinzibwe, asinzibwe
Emirembe gyonna

 

Exit mobile version