74 – Ggwe Omukuumi Mbuulira

74. Ggwe Omukuumi Mbuulira.… ~ Watchman, Tell Me…

1 of 5 verses
Ggwe omukuumi mbuulira,
Obudde buli kumpi?
(O)bubonero bw’okujja kwe,
Bwo bwali bulabise?
Yesu alijja amangu?
Emmambya yiiyo esala;-
“Wesibe ebyambalo byo,
Golokoka bukedde.

2 of 5 verses
Omusana gweyongera,
Okwaka mu kkubo lyo;
(O)bubonero buli wantu,
Obulaga (o)kujja kwe.
Ekondere nga livuze,
Banazukuka wonna;
Ababe bonna abaafa,”
Nga bambadd(e)ogutafa.

3 of 5 verses
“Omusana gujja mangu,”
Sabbiti ya Jubiri
Bonna bogera wamu
nti Obwakabaka bujje.
“Weewawo owoluganda,
Kanani yaffe ejja;- Ne Yerusalemi kijja”
Nga kyakayakana nnyo.

4 of 5 verses
Laba Kibug(a)kya zaabu,
Kabaka ku ntebe ye
Kabaka ow’ekitiibwa,
Afuga ensi zonna.”
“Ku nsozi ez’omusana,
Ogwak(a) obulungi ennyo;-
Ku migga egy’ekitiibwa”
egibunye (e)bimuli.

5 of 5 verses
Ensi yaffe esembera,
Ey’emirembe (e)nnungi;
Eri kumpi nga nnugi nnyo!”
Tunatuulanga omwo.
Wulira ennyimba (e)nnugi.
Ziwulirwa mu bbanga;-
“Abantu bangi bayimba,”
Tunatera (o)kutuuka.

Back to top button