244 – Ku Lunaku Olw’emirembe

244. Ku lunaku Olw’emirembe.… ~ Hail Peaceful…

1 of 3 verses

Ku lunaku (o)lw’emirembe,
Katuyimb(e) ekitiibwa kyo
Olutujjukiza Yesu,
Lweyatonda ensi zonna
Yalutuwa okulega
Ku ssanyu ery’omu ggulu.

2 of 3 verses

(E)nnyimba z’oktendereza,
Ziwulirwa eyo mu ggulu
Ba serrafi bakusinza,
Bavunnama mu maaso go
Ensi zonna tuyimbire,
Yesu eyatonda byonna.

3 of 3 verses

(O)lunaku lulituula ddi,
Tusinze mu yeekalu yo!
Mu bwakabaka bwo Yesu,
Olifuga ensi zonna
Emirembe n’emirembe
Mu Adeni ensi empya.

Exit mobile version