243. Bwetulituuka mu Ggulu ~ The Other Shore…
1 of 4 verses
Bwetulituuka mu
ggulu netwegatta wamu,
Tuliyimba ku kwagala
kwa Yesu Gyetuli;
Nga tuyise mu
milyango giri egya zaabu,
Ffenna abanunulibwa
tuliymba wamu.
Chorus:
Ssanyu (ssanyu),
Ssanyu (ssanyu)
Yesu ali kumpi (ddala)
Ddala atwagala (Yesu)
(E)ddoboozi lye ddungi
(gyendi)
Era (era) lumu (lumu)
Tulisisinkana (naye)
Netuyimba ku kwagala
Kwe Yesu gyetuli
2 of 4 verses
Eyo tuliba nu ssanyu
ery’olubeerera
Nga tutendereza Yesu
olw’obuwanguzi;
Tulituuka ku mugga guli
Ogw’obulamu,
Tewliba nnaku
wadde
Okukaaba kwonna.
3 of 4 verses
Tuliraba tulimanya
Buli kintu kyonna,
Tutambule mu
nnimiro
Nga tulaba Yesu;
Mu kutendereza
n’ennang(a)
Ezakolwa zaabu,
Yesu alitikkirwa
engule
Nga Kabaka
4 of 4 verses
Tetulizimba nnyumba
Netutazisulamu;
Tetulisimba meere
omulala
N’agirya
Naye tulibanga
wamu
N’omwgalwa waffe,
Nga tumwebaza
olw’okutuwa
obulamu