242 – Waggulu Mu Bwengula

242. Waggulu mu Bwengula.… ~ The Spacious Firmament…

1 of 3 verses

Waggulu ennyo mu bwengula;
Ebiriyo birungi nnyo
(E)ggulu eritemagana,
Byonna biraga gye byava
Enjuba buli lunaku,
Eyoles(a) ekitiibwa kye;
Neraga buli nsi yonna,
(E)mirimu gy’emikono gye.

2 of 3 verses

Akawungeezi bwe kajja,
(O)mwezi guvaayo ne gwaka;
Ensi bweyakirw(a) omwezi,
Kiraga obutonzi bwe,
Emmunyeenye nga zaaka nnyo,
Ng(a) ebsi nu bbanga ze kyusa;
Byonna biraga amaanyi ge,
N’amazima mu nsi yonna.

3 of 3 verses

Bitambula kasirise,
Okwetolool(a) ensi yonna;
Wadde nga tebireekaana,
Biba bigulumiza ye;
Byaka nga bwe biyimba nti,
“Eya tutonda wa maanyi!”

Exit mobile version