241. Akimanyi… ~ He Knows…
1 of 4 verses
Simanyi binambaako,
Katond(a) abinkweka;
Nga ntambula ngenda mu maaso
Andage ebipya,
Era buli ssanyu lyampa
Kibeera kyewuunyo
Chorus:
Ka mmugobererenga,
Mmwesige sityenga;
Buli ssaawa mmuyimbira,
Ekyo akimanyi
Buli ssaawa mmuyimbira,–Ekyo akimanyi
2 of 4 verses
Eby’okumpi byendaba,
Byokka byenetaaga;
(O)Musana gwe ggulu gwaka nnyo
Ng(a) eby’ensi bigenze;
Era mmuwulir(a) ang’amba“Ngoberera totya!”
3 of 4 verses
Kirung(i) obutamanya,
Kya mukisa gyendi;
Ankwata ku mukono gwange,
Tayinza ku ndeka,
Awummuza omwoyo gwange
Er(a) anjagala nnyo!
4 of 4 verses
N’olw’ekyo ng’enda naye,
Sikola kirala
Mu bizibu nga ndi ne Yesu,
Kinsingir(a) essanyu
Ka mmukkirize mmwesige
So si maaso gange