236 – Ettabaaza Zammwe Zaake
236. Etaabaaza Zammwe Zaake ~ Let Every Lamp…
1 of 4 verses
Ttabaaza zammwe Zaake nnyo
Ekiro Kisembedde;
Eky’enzikiz(a) ekutt(e) ennyo
Yesu Akomawo
Chorus:
Twetegeke ab’oluganda
Ku bya okudda kwa Yesu
Mukama Waffe Wuuy(o) ajja
Tukoleez(e) ettabaaza
2 of 4 verses
Wadde bangi tebafaayo,
Ku bya kudda kwa Yesu;
Okudda kwe kukakafu,
Eryo ly’essuubi lyaffe
3 of 4 verses
(A)mazima g’ekigambo kye,
Ye ttabaaza gye tuli;
Ne bwetwetoloolw(a) akabi
Yesu abeera naffe.
4 of 4 verses
(O)Kikkiriza n’ebikolwa,
Birabikenga mu ffe
Ggwe kkiriza ekigambo kye,
Yesu abeere naawe