235 – Nsembeza, Nsembeza
235. Nsembeza Gyooli…. ~ Close to Thee….
1 of 3 verses
Yesu omugabo gwange,
obulamu bwange nze
Mu lugendo lwange lwonna,
ka ntambulenga naawe.
Chorus:
Nsembeza, Nsembeza,
Nsembeza, Nsembeza
Mu lugendo lwange lwonna,
kantambulenga naawe.
2 of 3 verses
Amasanyu g’ensi eno,
n’ekitiibwa saagala
Nebwenabonabonanga,
kaantambulenga naawe.
3 of 3 verses
Yesu onkulemberenga,
mu mayengo g’ensi eno,
Onzigulire oluggi,
lw’obulam(u) obutaggwawo