234 – Mu Ssanyu N’Okukwebaza
234. Mu Ssanyu N’okukwebaza.… ~ In Joyful High…
1 of 3 verses
Mu ssanyu n’okukwebaza,
nyimus(a) eddoboozi lyange
Nayimba ntya okwagala
kwa Yesu okwekitalo.
Chorus:
Kwagala kwo, kwa kitalo,
kwagala kwo, Ye-su.
Kwagala kwo, kwa kitalo,
kwagala kwo, Ye-su.
2 of 3 verses
Emisan(a) era n’ekiro,
mu muyaga, mu nzikiza
Mu bulumi, mu bunafu,
Nnayimbang(a) kwagala kwo.
3 of 3 verses
Bwenasabang(a) onsonyiwe,
bwenagwanga onsitule;
Mu bulamu ne mu kufa,
nayimbanga kwagala kwo.