233 – Nkwagala
S.D.A Hymnal 236
233. Nkwagala.… ~ I love Thee…
1 of 4 verses
Nkwagala nkwagala,
nkwagala Yesu
Mulokozi wange,
Katonda wange
Obanga nkwagala,
kino (o)kimanyi
Ebikolwa byange, binakakasa.
2 of 4 verses
Nsanyuka, nsanyuka,
nga kyakitalo!
Nengera, nengera,
ensi ennungi
Njagal(a) okubeera
wamu ne Yesu
Era n’okulaba bamalayika.
3 of 4 verses
Mulokozi wange
(o)mpadde essanyu
(O)bulamu, kuwummula
n’emirembe
Kwagalakwo kungi,
Nakwebazanga
Kisakyo kinsanyusa omutima.
4 of 4 verses
Ani afaanana
Yesu Kabaka
Gwenanyimbangako
ennaku zonna?
Kamutendereze,
muyimbire nnyo
Kubanga njijudde essanyu lingi.