229. Nnaagenda Gy’oyagala.… ~ I’ll Go Where You Want Me…
1 of 3 verses
Ku nsozi ennungi ennyo,
Oba nnyanja embi ennyo,
Oba mu ntalo ez’amaanyi,
Wonna w’onjagaliza;
Bwe mpulira nga, Ggwe ompita
Mu kkubo kye simanyi
Bw’ononkwata ku mukono gwange
Nagenda gy’oyagala
Chorus:
Nagenda gy’oyagala, Mukama
Ku nsozi oba ku nnyanja
Nayongeranga Ggwe by’oyagala
Nze nabeera ky’oyagala
2 of 3 verses
Oba waliwo ebigambo,
By’oyagala njogere
oba waliwo ali mu kabi
Gw’oyagala nkomyewo
Nga Ggwe mukulembeze wange
Ekkubo wadde nga bbi;
(O)Bubaka bwo nze
nnaabwogeranga,
Njogere Ky’oyagala
3 of 3 verses
Oba waliwo (e) kifo kyonna
Mu nnimiro zo, Yesu,
Mw’oyagala nze nkukolere,
Ggwe eyakomererwa
Nga nesiga obukuumi bwo,
Kubanga onja gala .
Nka nkukolere nag ndi mwesigwa
Mbeere nga bw’oyagala.