225 – Lya Kitiibwa Erinnya Lyo

225. Lya Kitiibwa Erinnya lyo ~ Glorious Is Thy Name…

1 of 4 verses

((O)mulokozi tukusinza,
Tubuulira ekisa kyo
Ggwe (o)wamaanyi
(O)mutukuvu.
Lya Kitiibwa erinnya lyo

Chorus:
Lya——ki- -tiibwa
Lya—–ki– tiibwa
(lya kitiibwa erinnya lyo, lya kitiibwa erinnya lyo)
Lya kitiibw(a) erinnya lyo
Lya——ki- -tiibwa
Lya—–ki– tiibwa
(lya kitiibwa erinnya lyo, lya kitiibwa erinnya lyo)
Lya kitiibw(a) erinnya lyo

2 of 4 verses

(O)Mununuz(i) era Mukama
(o)musana(a) ogutakoma
(A)Batukuvu mu nsi zonna
Bayimbe ng(a) ettendo lyo

3 of 4 verses

Waleka entebe mu ggulu
N’ojja ku musalaba
N’ofa nga ssaddaaka yaffe,
(A)Bonoonyi tube babo

4 of 4 verses

Jjangu omulokoz(i) atafa,
Otuule ku mtebe yo;
Ofuge emirembe gyonna
Obwakabaka bubwo

Back to top button