224 – Obwesiga Bwo Bungi

224. Obwesigwa Bwo Bungi… ~ Great Is Thy Faithfulness

1 of 3 verses

(O)bwesigwa bwo bungi Ayi kitaffe;
Ggwe tokyukakyuka lubeerera,
Okusaasirakwo tekuliremwa
Ggwe waliwo era olibaawo

Chorus:

(O)bwesigwa bwo bungi
(o)bwesigwa bwo bungi
Buli lukya ndaba ekisa kyo;
(O)mukono gwo gumpadde
byenetaaga,
(O)bwesigwa bwo bungi gyendi Yesu

2 of 3 verses

(O)Musana n’enkuba ,
n’amkungula;
Enjuba omwezi n’emmunyeenye
Bikuwaako byonna obujulirwa
Ku bwesigwa bwo n’okwagala kwo

3 of 3 verses

Onsonyiwa ebibi omp(a) emirembe
Obaaw(o) onsayusa onnung’amya
Omp(a) amaanyi leero,
N’essuubi ery’enkya;
(E)mikisa gyo gyange, n’abalala

Back to top button