221. Mmanyi Gwenakkiriza ~ I Know Whom I have Believed…
1 of 5 verses
Simanyi Lwaki Katonda
Yanjagala bwatyo
Nz(e) omubi atasanira
Nangula mbe wuwe
Chorus:
Nze mmany(i) oyo
Gwennakkiriza
Era mmanyi nti afaayo gyendi
Akuuma byeyasuubiza;
Okutuusa lwalidda
2 of 5 verses
Simanyi lwaki yampa nze
(E)kisa ekindokola
(O)Kukkiriza ekigambo kye,
Kwampa emirembe
3 of 5 verses
Simanyi (O)mwoyo bwakola
Ng’alung’amya abantu
Nga babikkulira Yes,
Nebamukkiriza
4 of 5 verses
Simanyi binnindiridde bibi
oba birungi;
(O)Luvannyuma
lw’okukoowa,
Ndirab(a) amaaso ge
5 of 5 verses
Simanyi Yesu lwalidda,
Kiro oba misana
Katambule naye wano
Era ne mu ns(i) empya