220 – Ba Mukisa
220. Ba Mukisa… ~ Blessed Are They that do
1 of 3 verses
Wulir(a) ebigambo bya Yesu,
Bya bulamu mazima;
Gwe ataty(a) atasaba
Wulira leero
Ba Mukisa abakwata ebyo
Chorus:
Ba Mukis(a) abakwat(a) amateeka
Ba mukisa Ba mukisa;
Bamukis(a) abakwat(a) amateeka
Ba mukisa Nga besiimye!
2 of 3 verses
Okuwulira nga tokola
(E)Bisuubizo bye tofuna
Okubiwulira kyokka tekiyamba
Ba Mukisa abakola ebyo
3 of 3 verses
Baliyingira mu kibuga,
Teri kibi teri nnaku
Nga batukuziddw(a)
Emirembe gyonna,
Balye ku muti (o) gw’obulamu