S.D.A Hymnal 559
22. Tompitako Omulokozi… ~ Pass Me, Not O Gentle Saviour…
1 of 4 verses
Tompitako (o)mulokozi,
Nkwegayirira
Nga oyita abalala, Nange ompite
CHORUS:
Ayi Ye-su, Nsab(a) ompulire,
Nga bw’oyita abalala, Nange ompite
2 of 4 verses
Ku ntebe yo
ey’ekisa Mpebw(e)
emirembe,
Nfukamidde wooli
Yesu,
Nsab(a)
onsonyiwe.
3 of 4 verses
Nkwesiga Ggwe Yesu wekka,
Ndag(a) amaaso go;
Ompony(e) endwadde z’omwoyo
Yes(u) ondokole
4 of 4 verses
Ggwe nsulo
y’essanyu lyaffe,
Osinga byonna,
Tewali mulala ku
nsi,
Oba mu ggulu.