219 – Mu Mikono Gye

219. Mu Mikono Gye Yesu… ~ Safe In The Arms of Jesus

1 of 3 verses

Mu mikono gye Yesu,
mu kifuba kye;
Nfuun(a) emirembe mingi
Era n’empummula
Nga bamalayika be,
Bayimba N’essanyu
Ku nnimiro n’ennyanja,
Ebimasamasa

Chorus:

Mu Mukono gye Yesu,
Ne mu kifuba kye;
Nfuna emirembe mingi
Era n’empummula

2 of 3 verses

Mu mikono gya Yesu,
Mwemponer(a) okufa
Nebikemo by’omunsi,
Mbiwonera ddala
Ekibi tekinnyinza,
N’okunakuwala
Okunnumya omwoyo
(E)Bigezo n’okutya

3 of 3 verses

Yesu ggwe eyanfirira,
Kiddukiro kyange
Nyweredde ku ggwe Yesu
Era nga nkwesiga;
Ka n’gumirenga byonna
Ekiro kiyita
Obudde lwebulikya,
Lwe tulisomoka

Back to top button