218 – Nyirigiza Okutuuka
S.D.A Hymnal 268
218. Nnyigiriza Okutuuka.… ~ Higher Ground
1 of 3 verses
Nyigiriza okutuuka ,
Ku ntiiko y’okukkiriza
Nga nsaba ng’ende mu maaso
Mukama ntuusa mu ggulu
CHORUS
(O)nsitula onnyimirize,
Mu kibug(a) eky’omuggulu;
Kyenjagala ekisinga.
Mukam(a) Ontuuse mu ggulu
2 of 3 verses
Ssegomba kubeera wano,
(O)Kubuusabuusa n’okutya
Wadde abamu bali mu byo,”
Mukama ntuusa mu ggulu
3 of 3 verses
Njagala mbeere mu ggulu.
Wadde setaani anwanyisa;
Mpulidde ennyimb(a) ennungi,”
Ng’abo’mu ggulu bayimba.