216 – Muzaalibwe Buggya

216. Muzaalibwe Buggya… ~ Ye must be born again

1 of 3 verses
Nikodemu yajja eri Yesu
Namubuuz(a) ekkubo ly’obulokozi;
Yamuddamu, “Okulokolebwa
Ggwe zaalibwa buggya

Chorus:
Muzaalibwe buggya
Muzaalibwe buggya
Ddala ddal mbagamba kino kyokka
Mu—zaalibwe buggya

2 of 3 verses
Abantu mwenna mukiwulire
Ekigambo Yesu kyeyayogera
Temugaya obubak(a) obwo
Muzaalibwe buggya.

3 of 3 verses
Bwoba onooyingir(a) ekiwummulo
Oyimb(e) oluyimba lw’abanunule:
Ng’oyagala obulam(u) obutaggwawo
Ggwe zaalibwa buggya

Back to top button