212 – Engoye Enjeru

212. Engoye Enjeru.… ~ Beautiful Robes…

1 of 3 verses
Tulitambula naye, Mu nsi ey’omusana
Ekiro gyekitayingira; Omusana bulijjo
(O)gwakir(a) abanunule,
Kye kitiibwa ky’omulokozi

CHORUS:
(E)ngo-ye (e)njeru-} *2
[Ngoy(e) enjeru *4] Tulyambala ngoy(e) enjeru (E)ngo-ye (e)njeru-}*2
[Za kitiibwa *2 Zeyagaza*2] Tuliyita ne Yesu,
Nga twambadde ebyeru

2 of 3 verses
Tulitambula naye
Tulabe ens(i) ennungi
Tulabe Kabaka w’eggulu,
Tulinyumya ne Yesu Mbozi empmerevu,
Tuyimbe ennyimb(a) ez’essanyu

3 of 3 verses
Tulitambula naye,
Ku mugg(a) ogw’obulamu
Nga Yesu atukulembedde.
Ngatunaaziddwa ebibi
Tutukulidde ddala;
Tuliba babe lubeerera

Back to top button