S.D.A Hymnal
21. Yesu Tuzze Eri Ggwe… ~ Father, We Come To Thee…
1 of 3 verses
Yesu tuzz(e) eri
ggwe, tewali
mulala,
Tweyuna gwe
wekka, nga tusaba.
Tuli mu nzikiza,
Yesu nga toliiwo,
Tuwe ku ssanyu
lyo, ayi Yesu.
Chorus:
Yesu, tuzze eri ggwe, tukkirize,
Tewali mulala, Tuwulire.
2 of 3 verses
Tuwony(e)
abalabe,
n’amalala g’ensi,
Tuwummule mu
ggwe, otukuume.
Tutiisibwa mu nsi
tuwe obuzira;
Twetaag(a)
amaanyi go,
(A)gawanguza.
3 of 3 verses
Tuwe ku kisa kyo,
Tufuule baana bo,
Otuwony(e) ebibi,
beera naffe.
Otunyweze mu
ggwe, Tuwangule
ensi,
Tukwate
(o)mukono,
Tube naawe.