206 – Baibuli Ebikkulirwe Ensi
206. Baibuli Ebikkulirwe Ensi… ~ An Open Bible for The World
1 of 4 verses
Baibul(i) ebikkulirw(e) ensi!
Kyekigendererwa kyaffe!
Amazima gabikkulwe
Gasaasaanye emikisa
CHORUS
Kigambo Kye –(Kya Mukisa)
Kibunyise- (Musana ggwe)
Ku lukalu ne ku nnyanja
Abali mu kizikiza
Kibazze eri Katonda
2 of 4 verses
Wonna Baibuli wetuuka–
Eyas(a) omusana gwayo Egoba ekizikiza
N’amaanyi ag’ekibi gonna
3 of 4 verses
Erag(a) abantu kitaffe—Oy(o)
ajjudde okwagala; Aboononyi mu
Adamu, Ebawa essuubi mu Yesu
4 of 4 verses
Etegeeza ebya Yesu—
Eyaff(a) atuw(e ) obulamu
Era bonna abakiriza,
Baba baana ba Katonda