203. Noonya Obubonero… ~ Look for the Way Marks…
1 of 3 verses
Noony(a) obubonero ng’otambula,
Noony(a) obubonero buve kumu;
Okuva ku bwakabak(a) obuna, Tuli luddawa?—
Noonya olabe.
Chorus:
Noonyerez(a) obubonero bw’obunnabbi,
Okuva ku bwakabak(a) obuna;
Noonyerez(a) obubonero bw’obunnabbi
Tuli kumpi n’eka
2 of 3 verses
Okusook(a) Abasuuli baafuga:
(A)Bameedi n’Abapeerusi nabo;
(A)Bayonaani n’abo ne bafuga,
Ruumi neddako—”
Tuli ludda wa?
3 of 3 verses
Ebigere (e)by’ekyuuma n’ebbumba,
Binafu binater(a) okuggwaawo;
Kiki ekinaddirira ku nsi?
Kudda kwa Yesu—
N’ensi eteggwaawo