202 – Tunateera Okutuuka Eka

202. Tunateera Okutuuka Eka… ~ In A Little While

1 of 4 verses
Leka tuyimbe oluyimb(a)
olw’essanyu
Tunateer(a) okutuuka eka,
(E)Kiro kiggwewo (O)Musana gwake wonna,
Tunateer(a) okutuuka eka

Chorus:
Tuli kumpi nnyo,
Tuli kumpi nnyo,
Okusomok(a) ens(i) eno;
Tusisinkane ng’ebizibu bikomye,
Tunateera okutuuka eka

2 of 4 verses
Tulikol(a) emirimu nga tusanyuka,
Tunateer(a) okutuuka eka;
Tulinywezebwa ekisa kya Katonda
Tunateera okutuuka eka

3 of 4 verses
Tuyambe bonna abakooye mu kkubo,
Tunateera okutuuka eka
Tubalage okwagala kwa Katonda,
Tunateera okutuuka eka

4 of 4 verses
Tuliwona ebizibu eb’ens(i) eno,
Tunateera okutuuka eka
Teriba maziga mu kibuga ekyo
Tunateera okutuuka eka

Back to top button