Church Hymnal 585
20. Mukama Lwe Lwazi Lwaffe… ~ The Lord’s Our Rock…
1 of 4 verses
Mukama Lwe
Lwazi Lwaffe
Eri oyo gye
tweyuna.
Ye atuwonya mu
kabi,
Ye kye kiddukiro
kyaffe.
CHORUS:
Ggwe olwazi
olw’amaanyi
Obwekweko
bw’abanaku
Omusaale w’abayise
Ekiddukiro
mu nnaku.
2 of 4 verses
Ye atuwonya mu
byonna
Eri oyo gye tweyuna
Tetutya ntiisa ya
mubi
Ye kye kiddukiro
kyaffe.
3 of 4 verses
Ennaku bwe
zitujjira
Eri oyo gye tweyuna
Mwe muli eddembe
lyaffe
Ye kye kiddukiro
kyaffe.
4 of 4 verses
Gw(e) olwazi lw’abantu
bonna
Eri Ggwe gye tuddukira
Otuyambenga bulijjo,
Beera kiddukiro kyaffe.