199 – Tukola Lwa Kwagala
199. Tukola Lwa Kwagala.… ~ Tis Love That Makes Us Happy…
1 of 4 verses
Tukola lwa kwagala,
Kutuwa amaanyi;
Kutuwa ekisa ekingi,
Er(i) abantu bonna
Chorus:
Wa kisa, era yatuuzala;
Mwagazi Tumufanane;
Tukola lwakwagala
Kutuwa amaanyi, Kutuwa ekis(a) ekingi,
Er(i) abantu bonna.
2 of 4 verses
Ensi ejjudde ennaku,
Endwadde n’ekibi;
Olw’okwagala, tufuba,
Kulw(a) abantu bonna.
3 of 4 verses
Emitima gijjule,
Essanyu bulijjo; Bwetubeera n’okwagala,
(O)musana gwe gwaka
4 of 4 verses
Bwetulituka eri, Ewaffe mu ggulu;
Enyimba zaffe ziriba,
Ku kisa kya Yesu.