197. Ai Katonda Atutuusizza… ~ O Thou Whose Hand…
1 of 6 verses
Ayi Katond(a) atutuusizza,
Ku lunaku olw’essanyu
Kkiriz(a) okwebaza kwaffe,
Wamu n’okusaba kwaffe;
2 of 6 verses
Tukugulumiza leero,
Olw’ennyumba eno empya:
Tulungamizenga muno, Mu kkub(o)”
Erituuka gy’oli
3 of 6 verses
Abaazimb(a) ekkanisa eno,
Obaweng(a) emikisa gyo,
Bonna abakula n’abato,
Bamanye okwagala kwo
4 of 6 verses
Katulab(e) ekitiibwa kyo,
Mu yeekalu y(o) entukuvu;
Kubanga obulungi bwayo,
Tebugasa nga toliimu
5 of 6 verses
Bwetukunganirangamu,
Netukuw(a) emyoyo gyaffe;
(O)Buyinza bw’amazima go,
Bwerag(e) era otuwulire
6 of 6 verses
(E)Kitiibwa kyo ekitaggawo,
kubenga mu kkanisa yo;
Ekulember(e ) abantu bo,”
Okubatuusa mu ggulu