195. Omusingi Gwekkanisa.… ~ The Church Has One Foundation…
1 of 4 verses
(O)Musingi gw’ekkanisa, Ye
Yesu Mukama;
Kye kitonde ky(e( ekiggya, Mu
mazzi n’enjiri
Ye yamuggya mu ggulu, Eb(e)
omugole we;
(O)Musaayi gwagigula , Yafa
ebe nnamu
2 of 4 verses
Eri mu buli ggwanga, Naye
eri emu; Mukama, (o)kkukiriza,
(o)kubatiza kumu
(E)rinnya limu lyesinza,
Erya emmer(e) emu
Erina essuubi limu,”
Okudda kwa Yesu
3 of 4 verses
Newankubadde enyoomwa,
Era n’essasirwa;
Abalabe baayo ne
bwebanagiyuuza; Abakkiriza baayo,
Tebajjulukuke;
Er(a) obudde tebuulwe,
Bayimbe olw’essanyu
4 of 4 verses
Mu kubonaabon(a) ennyo,
Mu kufuba kwayo;
Essubira emirembe,
Egy’oluberera;
(O)Kutuusa lweriba Ekyasuubizibwa,
Olw(o) eriba ewangudde, Era
eriwummula