194 – Wuliriza Omusumba
194. Wuliriza Omusumba.… ~ Hark! ‘Tis The Shepherd’s Voice…
1 of 3 verses
Wuliriza Omusumba,
Ayita endiga eziri;
Mu ddungu ly’ekizikiza,
Gye zawabira obwedda.
Chorus:
Gendayo (o)zireete
Oziggye mu nsi ey’ekibi;
Gendayo (o)zireete
mu kisibo kya Yesu.
2 of 3 verses
Anaamubeera ya ani,
Okunoonya ezibuze,
Okuzizza mu kisibo,
Mwe zibera obulungi?
3 of 3 verses
Zikaabira mu malungu,
Era ne ku nsozi zonna
Mukama ye akugamba,
Ggwe nnonya endiga zange.