193. Olwazi Lw’edda N’edda Ggwe.… ~ Rock Of Ages, Cleft For Me…
1 of 4 verses
(O)lwazi lw’edda n’edda ggwe,
Olwanjatikiriza nze;
Omwo mwe nekweka nze,
(O)musaayi gwe mwe gwava,
Ebibi binziyeko, Nfuula omuwanguzi.
2 of 4 verses
Emirimu gy’engalo, n’okufuba
kw’omuntu, Namaziga agajja ennyo,
Emisana n’ekiro; Byo tebiggyawo bibi,
ggwe wekka omulokozi.
3 of 4 verses
Sirina nze bulungi, Nkwesize ggwe bwesizi,
Omweerere nyambaza, Omunakku mp(a) ekisa,
Laba bwendi omubi, Onaaze, nkuwerezze
4 of 4 verses
Bwendituka mu ggulu, nga nina ebbibala;
Bwe ndiraba ggwe Yesu, ne nsanyukila w’oli,
Ndibeera nga siyinza, Okwegulumizanga.