S.D.A Hymnal 332
189. Olw’ekisa Kyo Nnengera.… ~ O Now I see The Crimson Wave…
1 of 4 verses
Ku musalaba nnengera
(E)nsuulo y’obulamu
Mukama omulokozi ndab(a)
ebiwundu ebyo.
Chorus:
Mu mugga gw’obulokozi,”
ka naabemu ntukuzibwe;
Yesu yebal(e) antukuzza
antukuzza n’omusaayi.
2 of 4 verses
Nze nfuuka kitonde kiggya,
olw,omusaayi gwe
Eby’edda byonna biggwawo,
olw’maanyi ge ye.
3 of 4 verses
Ka ntambule mu maanyi ge,
setani tannyinze;
Ebibi byonna bigende,
Yesu andokole.
4 of 4 verses
Olw’omusaayi gwa Yesu,
ensi tekyafuga;
Yesu Mukama yamponya,
oyo eyatiibwa!