184 – Okwagala Mu Maka
184. Okwagala We Kuba .… ~ There is Beauty All Around…
1 of 4 verses
Okwagala we kuba, tewaba nnaku;
Amaka agekisa, gajjul(a) esanyu;
Buli wantu nga ddembe,
(E)mboozi empoomerevu
Liba ssanyu jjerere,” Mu maka gaffe
Chorus:
(O)kwagala, mumaka;
Liba ssanyu jjerere Mu maka gaffe.
2 of 4 verses
Mu nju libeera ssanyu,
O’lw’okwagala; Tewabaawo kiyinza,
Olw’okwaagala; Wonna wonna mu nyumba,
Nga wajjudde essanyu,
(O)bulamu busanyusa, Mu maka gaffe
3 of 4 verses
Ne Yesu asanyuka,
Nga twagalana; Okukyawa n’obuggya,
Tebibeerawo, (A)maka agagalana,
Gabeera ga muwendo,
Boolesa obulungi Obwa Kitaffe.
4 of 4 verses
Yesu nfuula owuwo,
Mbe n’okwagala; Er(a) olwa saddaaka yo,
Nfuula omuggya,
Ggwe omponye mu bubi
Ompummulize mu Ggwe”
Ompe omukisa gwo,
Mu maka gaffe