S.D.A Hymnal 620
178. Bwe Mbeera Ku Yoludaani. … ~ On Jordan’s Stormy Banks…
1 of 4 verses
Bwe mbeera ku yoludaani
Nnengera n’essanyu
Kanani yaffe ennungi,
Mu butaka bwaffe.
Chorus:
Tuliwummula mu nsi ennungi, (ennungi)
Nga tumaze okusomoka;-(ensi)
Tuyimbe oluyimba olw’Omwana.
(g’endiga) Tubeere naye bulijjo
2 of 4 verses
Emitala w’enseny(i) ezo
Butangaavu bwokka
bwe bwakabaka bwa Yesu
Agoba ekiro.
3 of 4 verses
Negomba okutuukayo
Nsanyuke bulijjo
Ntunulenga ku Kitaffe
Mu bwakabaka bwe
4 of 4 verses
Nnina essanyu mu mwoyo,
Wano nze sirweewo,
Wadde ebizibu bingi
Kangume ndi genda