174 – Tetumanyi Ssawa Lw’alijja
174. Tetumanyi Ssaawa Lw’alijja.… ~ We Know Not the Time When He Cometh…
1 of 3 verses
Tetumanyi ssaawa
lw’alijja,
Mu ttuntu oba mu
tumbi,
Ku makya, oba
kawungezi,
Atugamba tutunule!
Twetegekere okudda kwe,
(E)Tabaaza zaffe nga
zaaka
Lwa alidd(a) alyok(e)
atusange ffe
Nga tumulindirira nnyo
Chorus
Nga – – – tutunula,
(nga tutunula nga tulinda ye)
Nga – – – tumulinze,
(nga tutunula nga tulinda ye)
Nga – – – tutunula,
(nga tutunula nga tulinda ye)
Nga tulindirira Yesu
2 of 3 verses
Lowooza ekisa kye ekingi,
n’Omuwendo gwe
yawaayo;
Yaleka ekitiibwa
kye’eggulu,
N’ajja okufa ku lwaffe;
Ndowooza kimusanyusa
nnyo
Ng’alaba beyanunula,
Nga beetegekera okudda
kwe,,
Nga balinda batunula
3 of 3 verses
Yesu omununuzi wange,
Omanyi nga nze
nkwagala,
Era nsubira okukulaba,
Mpulira eddobbozi lyo
Bw’olijja nga
Omulamuzi
Nga abamu bakudduka,
Nze ndikwaniriz(a)
omwagalwa
N’essannyu mu
ssaaawa eyo.