S.D.A Hymnal 137
172. Ffe Twayitibwa Ku Mbaga Ye… ~ Called to the Feast…
1 of 5 verses
Ffe twayitibwa
ku mbaga ye,
Tutule wamu
n’abantu be,
Kale nno
tulibeera tutya
Kabaka
ng’azze ?
Chorus:
Kale ow’oluganda
Yesu lw’alijja
Olibeera ku
ludda ki,
Kabaka ng’azze
2 of 5 verses
Ng’atikidd(e)
engule ku
mutwe
N’ekitibw(a)
oyo eyattibwa,
Entiisa
eribawo nnene,
Kabaka
ng’azze.
3 of 5 verses
Alijja wamu
n’okumyansa,
Byonna bye
tukisa abantu;
Birimanyibwa
buli muntu ,
Kabaka ngazze.
4 of 5 verses
Alisanyukira
ababe,
Abaliba mu
ngoy(e) enjeru;
Tugume
tuwangule
byonna, Kabaka
nga azze
5 of 5 verses
Mukama otuwe ekisa,
Fenna
tukulindirirenga,
Tusanyuke
okukulaba,
Bw’onoba
ng’ozze