171 – Ekissera Ky’omusango Kituuse
S.D.A Hymnal 416
171. Ekiseera Ky’omusango Kituuse… ~ The Judgement Has Set…
1 of 4 verses
Ekiseera (e)ky’omusango
kituuse, Ebitabo bibikuddwa;
Tuliba tutya maaso ga
Katonda(a) omulamuzi
Chorus:
Tuliyimirira- tutya? Ku
lunaku olu-kulu
(A)wamu n’ebibi bya-ffe
byonna– ,
O-ba nga- busanguddwa?
2 of 4 verses
Omusango gwatandika
n’abafu, (Naffe kati
tukeberebwa
Ebitabo by’okunjjukiza,
Birikeberwa ddala
3 of 4 verses
Tuliba tutya mu kaseera ako
nga ebibi byaffe birabwa?
Omusango nga gu- saliddwa,
teriba kujulira
4 of 4 verses
Omusaayi gwa Yesu gwe
gunaaza
Ebibi byaffe bingi nyo;
Tetulina nsonga okutya
nga atuwolereza.