169. Yesu Aliku’nganya Abantu .… ~ When Jesus Shall Gather…
1 of 5 verses
Yesu aliku’nganya (a)bantu,
(O) kulabika mu maaso ge;
Ffe tuliba tutya musango,
Bw’alituyit(a) okuwoza?
Chorus:
Aliteeka (e)’ngano mu ggwanika,
Alisuula ebisusunku;
Tuliba tutya mu musango
Ku lunaku olukulu?
2 of 5 verses
Tulimuwulira ng’agamba,
“Muddu omwesigwa webaale?”
Oba ffe tulitya n’obulu-mi.
Nga tugobwa mu maaso ge?
3 of 5 verses
Alisanyukira (a)baana- be,
Ng’alaba be yanunula;
Alibambaza (e)by’omu ggulu,
Balifukamira w’ali.
4 of 5 verses
Ka tutunule twekuume-nga,
Ettabaza nga zaka nnyo;
Awasa (o)mugole bw’alijja,
Twetegeke okugenda.
5 of 5verses
Ka tulowooze eb’omuggulu,
Tulindirire ekiseera
(O)Lugendo lwaffe
bwerulikoma
Tulibeera mu maas ge