167. Yesu Mukama Omulokozi .… ~ Jesus, My Saviour, to Bethlehem Came …
1 of 4 verses
Yesu Mukama Omulokozi
Yajja mu nsi okunoony(a) ababi;
Nga kwa kitalo okwagala kwe,
Yajj(a) okunoonya nze.
Yajj(a) okunoonya nze,
Yajj(a) okunoonya nze.
Nga kwa kitalo okwagala kwe,
Yajj(a) okunnonya nze.
2 of 4 verses
Yesu Mukama Omulokozi,
Bwe nali mu nvuba ya Setani,
Yannunula n’omusayi gwe ye
Yesu yanfiirira.
Yesu yanfiirira,
Yesu yanfiirira,
Yannunula n’omusaayi gwe ye
Yesu yanfiirira.
3 of 4 verses
Yesu Mukama Omulokozi,
Bwe nali nga nvudde mu kkubo lye,
Yankowoola n’okusasira kwe,
Yesu yampita nze,
Yesu yampita nze,
Yesu yampita nze,
Yankowoola n’okusaasira kwe,
Yesu yampita nze.
4 of 4 verses
Yesu Mukama Omulokozi
(E)kigambo kino kye kisanyusa,
Ndimulaba lw’alijja n’ebire,
Okuntwal(a) ewuwe.
Okuntwal(a) ewuwe,
Okuntwal(a) ewuwe,
Ndimulaba lw’alijja n’ebire,
Okutwal(a) ewuwe.