165 – Yesu Yasubiza
S.D.A Hymnal 600
165. Yesu Yasuubiza Abaana Be… ~ Sweet Promise is Given…
1 of 3 verses
Yesu yasuubiza abakirizza
Nti Ndikomawo ne mbatwala
gye ndi; Mutunule nga munnindirira,
(o) kutuusa lwe ndijja,
Mwe munyerenga
CHORUS:
Mwe munywerenga,
Bweyasuubiza;
Ndibawa eggulu n’ensi empya
Era mulifuga wamu nange,
Muliweebwa engule
Mwe munyerenga
2 of 3 verses
Ka tutunule nga tusabanga,
Alijja mu saawa etamanyiddwa
Tumanyi nga ali kumpi ddala;
Olw’obubonero
bwe yatuw(a) edda.
3 of 3 verses
Essubi lyaffe mu kigambo kye
Kwekukomawo kwa Yesu
kuns(i) eno
Kye kisinga byonna obukulu,
Ffe ka tunywerenga,
alijja mangu.