156 – Katonda Omutukuvu

156. Katonda Omutukuvu Nu’ngamya!.… ~ Asleep In Jesus…

1 of 3 verses
Katonda omutukuvu, Nu’ngamya
nga ntambula! Ndi munafu,
Ggwe olina Amaanyi ge netaaga;
Mpanirira, Nywereza nze
Mu mukon(o) ogw’amaanyi,
Mu mukon(o) ogw’amaanyi

2 of 3 verses
Ggulawo ensulo
(e)y’amazzi, Etukuz(e) abaana bo,
Giggulire entukuze okummalam(u) ekibi.
Ggwe empagi y’omuliro,
Beera engabo yange. Beera engabo yange.

3 of 3 verses
Bwe ndituuka ku mbalama
z’omugga Yoludani,
Okutya kwange kuggwewo,
Ontuuse mu Kanani!
Neyongere, (e)nnaku zonna,
(O)kukutenderezanga, (O)kukutenderezanga.”

Exit mobile version