155 – Mu Lugendo Lwange Lwonna

S.D.A Hymnal 516

155. Mu Lugendo Lwange Lwonna.… ~ All the Way My Saviour Leads Me…

1 of 4 verses
Mu lugendo lwange lwonna Yesu ankulembera;
Nyinza ntya (o)kubusabusa, Ye bw’antwala bulijjo?
Byonna ebibeera mu nze Tebiyinza kunnumya,
(Yesu ye Mukuumi wange, Y’angabira (o)bulamu.) X2

2 of 4 verses
Mu lugendo lwange lwonna,
Yesu ankulembera; Abalab(e) abalinnumba
Ye alibawangula; Era (a)lintuusa n’essanyu
Lingi mu mirembe gye;
(Enjala bw’eba ng’ennuma Andiisa ku mmere ye.) X2

3 of 4 verses
Mu lugendo lwange lwonna,”
Yesu ankulembera. Era ne bwemba nga nkoye,
Ampozawoza mangu; Enyonta ng(a) ennuma ennyo,
Ng’enkalamat(a) enzita,
(Oyo lwe Lwazi omuva, Amazzi g’obulamu.) X2

4 of 4 verses
Mu lugendo lwange lwonna,
Yesu onkulembera; Ggwe Omulokozi wange.
Eyanfuul(a) omwana wo;
Ka nkutendereze bwentyo
(E)miremb(e) egitaggwawo,
(Nayimba n’essanyu lingi, Ggwe Mununuzi wange.) X2

Exit mobile version