154 – Netaga Omulokozi

154. Netaga Omulokozi.… ~ I Must Have The Saviour With Me…

1 of 4 verses
Netaga Omulokozi,
Kuba nze ndi munafu;
Netaga okuba naye,
Ng’ankutte ku mukono.

Chorus:
Mu byonna nnagumanga,
Antwale gyayagala,”
Nnaagenda seemulugunya,
Bwenkulemberwa Yesu

2 of 4 verses
Netaga Omulokozi
Siyinza kuwangula,
Wabula ye bw’ana’ngumya,
N’eddoboozi ly(e) eddungi.

3 of 4 verses
Netaga Omulokozi,
Mu kutambula kwange,
Mu buzibu bwange bwonna,
N’ebikemo by’omubi.

4 of 4 verses
Netaga Omulokozi,
Andagenga ekkubo.
Amponye mu ntalo zange,
N’okuwangula byonna.

Back to top button