94 – Ennimiro Zo Zengedde

S.D.A Hymnal 358

94. Ennimiro Zo Zengedde .… ~ Far And Near the Fields …

1 of 3 verses

Ennimiro zo
zengedde,
Ebikungulwa
bingi.
Biri buli wantu
wonna,
Mu biwonvu mu
nsenyi.

Chorus:

Omukunguzi
(o)mukulu
Ggwe Mukama
wa byonna,
Tum(a) abaddu
mu (e)nnimiro,
Ekiseera kituuse.

2 of 3 verses

Tuma ku nkya
nga bwakakya,
Ne mu ttuntu
toleka.
Era n’enjuba
ng’egudde,
Banoge buli
wantu.

3 of 3 verses

Nawe Mukama
gw’atuma,
Ku’nganya
ebibala.
(O)kutuusa
enkomerero,
Olisanyuka mu ye.

 

Back to top button