149 – Oyagala Obe Wa Yesu Akulongose?

149. Oyagala Obe wa Yesu Akulongose?.… ~ Would You Live for Jesus?…

1 of 3 verses
Oyagal(a) obe wa
Yesu akulongose?
Wetaag(a) ontambule
Mu kkubo lye?
Oyagala yetikkenga
Obuzibu bwo?
Mugany(e) akulu’ngamye!

Chorus:
Amaanyi ge ganakulongosa;
(O)musaayi gwe Gunakutukuza;
Bw’anakujjuza Okwagala kwe,
Onosanyuka
Ng’akulu’ngamya!

2 of 3 verses
Oyagala akutuuse Ku ddembe ddala?
Osobole okumugoberera?
Oyagala onywezebwe Mu mikono gye?
Mugany(e) akulu’ngamye!

3 of 3 verses
Oyagala akutuuse
Mu kiwummulo?
Oyagala obeer(e) omuwanguzi?
Era oleetenga
Bangi abakungulwa?
Mugany(e) akulu’ngamye!

Exit mobile version