148 – Mukama Onsembeeze Gy’oli
148. Mukama Onsembeze Gy’oli.… ~ Closer to Thee, My Father, Draw Me…
1 of 3 verses
Mukama onsembeze gy’oli,
Eyo gye njagala;
Okubera mu kifuba kyo,
Mpummulire mu Ggwe.
Chorus:
Nse-mbe-za n’okwagala,
O-ntuse eyo gy’oli,
O-nse-mbe-ze mu kifuba kyo.
2 of 3 verses
Yesu Mukama ntusa gy’oli,
Mbere wamu nawe,”
Nga onkutte mu mukono gwo,
Mu ssany(u) ejjerere.
3 of 3 verses
Ontwale n’amanyi g’Omwoyo,
Ndyoke nkufanane;
Nzukiza, nnaza, onnongose,
Nzigwemu ekibi.