147 – Fuga Obulamu Bwange
147. Fuga Obulamu Bwange.… ~ Live Out Thy Life Within Me…
1 of 4 verses
Fug(a) obulamu bwange,
Ggwe Yesu, Kabaka,
Ggwe omagezi gange,
Mu byon(a) ebinnema;
Yesu, beeranga mu nze,
Mu byonna bye nkola,
Mbere ng(a) endabirwamu,”
Ndage (e)kitiibwa kyo.
2 of 4 verses
Ka mbeere yekalu yo,
Omutali kibi, Ekitiibwa kyo kyonna,
Nga kyeraga mu nze;
Ebyensi ka mbiveko,
Okuva kakano
Mbeere muddu wo ddala,
Nkole by’ondagira.
3 of 4 verses
Ayi Yesu, nze nzenna,
Ka mbeeranga wuwo,
Nkozesa by’oyagala,
Sikyali ku bwange;
Bulijjo nettanira Kulu’ngamizibwa,
N’okulongosebwa Ggwe,”
Mu mutima gwange.
4 of 4 verses
Naye kannewombeke,
Mu biseera byonna
Nga nnind(a) okuteesa kwo,
Ggwe nga bw’oyagala;
Fug(a) obulamu bwange,
Yesu, Ggwe Kabaka,
Ggwe amagezi gange,
Mu byonna bye nkola.