143. Kitange, Nze Nkukowoola.… ~ Father, I Stretch My Hands…
1 of 5 verses
Kitange, nze nkukowoola,
Ggwe mubeezi wange;
Tonzigyako kukuuma kwo,
Neme okubula.
2 of 5 verses
(O)mugabi w’okukkiriza,
Nze nkutunulidde!
Ekirabo kyo nkyetaaga
Wekitali nfa nze.
3 of 5 verses
Mmanyi nga tondeke kufa,
Yogera, omponye;
Kakano ka nnindirire
Omwoyo (o)mubeezi.
4 of 5 verses
Ndijjula essanyu lingi,
Nga ndab(a) amaaso go;
Mpuliza ekigambo kyo,
Mpeebwe n’ekisa kyo.
5 of 5 verses
Nzikiriza ddala Yesu
Nga yanfirira nze;
Nooyiwa omusaayi gwo,
Nsonyiyibw(e) ebibi.