139 – Omununuzi Wange
139. Omununuzi Wange.… ~ O Jesus, My Redeemer…
1 of 4 verses
Omununuzi wange,
Oluyimba lwange,
Mulokozi (a) nsanyusa,
Mu bulumi bwange.
CHORUS
Omununuzi Yesu,
Nakuyimbangako
Ow’omukwano asinga
Tewali Akwenkana!
2 of 4 verses
Mulokozi nkwesiga
Mulungamya wange
Gw’osinga (a)bantu bonna
Ab’omunsi muno.
3 of 4 verses
Gwe oli suubi lyange
Mu bulamu bwange
Bwembeera mu nzikiza
Mu maziga gange.
4 of 4 verses
Gw’oli luyimba lwange
Munsi en(o) ey’ekibi
Gw(e) essanyu lyange wano
Era ne mu ggulu!